Minisita wa Kampala alagidde abakuba ebifaananyi byebinnya mu nguudo bakwatibwe
Hon. Mwijukye Francis (Buhweju MP) ngayakiikiridde akulira Oludda oluwabula Gavumenti ategeezezza Palamenti nga bweyewuunyizza Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Kampala okuyisa ekiragiro ekifuula okukuba ebifaananyi by’ebinnya ebiri mu nguudo za Kampala omusango nga agamba nti bino kyakutiisa abalambuzi baleme kujja mu Ggwanga. Hon. Mwijukye ategeezezza Palamenti waliwo abantu abakwatiddwa olwokukuba ebifaananyi nasaba nti kino kigonjoolwe […]
Omumyuuka wa Attorney General yawandiikira Pulezidenti ngamusaba obutateeka mukono ku tteeka lyabisiyaga – Ho. Silwanyi
Omubaka wa Bukooli Central, Hon. Solomon Silwanyi avuddeyo nalaga obwenyamivu nga agamba nti Omumyuuka wa Attorney General Hon. Kafuuzi Jackson yawandiikira Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ngamuwabula obutateeka mukono ku bbago lya Anti-Homosexuality Bill 2023 eryayisibwa Palamenti nga 21 March 2023.
Minisita Kasaija azizzaayo amabaati geyafuna
Minisita w’ebyensimbi Matia Kasaija olunaku olwaleero azzizzaayo amabaati ku sitoowa ya Offiisi ya Ssaabaminisita esangibwa e Namanve geyafuna ku g’e Karamoja nga akyalindirira ba mbega ba Uganda Police Force okugekebejja okulaba omutindo n’omuwendo gaagwo galyoke gakwasibwe abakuuma sitoowa.
Baminisita ba Museveni bonna babbi – Rtd Col. Dr. Kizza Besigye
Munnakibiina kya Forum for Democratic Change – FDC Rtd Col Dr Kizza Besigye; “Baminisita ba Museveni babbi. Balinga nkima ezirabye amenvu ziba zaagala kuganyakula bunyakuzi buli bwezigalabye.”
UNRA efunye ebyuuma ebipya
Ekitongole ekivunaanyizibwa ku by’enguudo mu Ggwanga ki Uganda National Roads Authority – UNRA kifunye emotoka empya ezigenda okukozesebwa okukola n’okuddaabiriza enguudo okwetoloola Eggwanga lyonna. Kino kidiridde embeera y’enguudo mu Ggwanga naddala mu kibuga Kampala okwongera okwonooneka.
Poliisi esabye buli gwebawambako ennangamuntu aggulewo omusango
Uganda Police Force evuddeyo nesaba Bannayuganda mwenna ng’ennangamuntu zammwe mwazikozesa ngomusingo oba nga zawambibwa okugenda ku Poliisi yonna ekuli okumpi ofune okuyambibwa. Poliisi egamba nti ekikolwa kyokuwamba, okutwala, okuwaayo oba okuggya ku muntu ennangamuntu ye ng’omusingo kimenya mateeka.
Morley Byekwaso alekulidde ku kyobutendesi bwa KCCA FC
Omutendesi Morley Byekwaso olunaku olwaleero alekulidde ku kifo ky’omutendesi wa KCCA FC ono asiibulidde Kavumba leaves Kavumba oluvannyuma lwa Soltilo Bright Stars FC okubakuba ggoolo 1 ku 0 nebawandula mu kikopo kya Stanbic Uganda Cup. Abawagizi bawuliddwako nga bamuweerekereza ebigambo nti “Togenda wekka, ne banno bagende.” Byekwaso agamba nti abazannyi babadde tebakyamuwulira.
NUP ekoze enongosereza mu Ssemateeka waayo
Ekibiina kya National Unity Platform – NUP kikoze enongosereza mu Ssemateeka waakyo okuteekawo ekkomo ku bisanja omuntu byalina okukomako ku kifo ky’Omubaka wa Palamenti wamu n’Abakulembeze abalala mu kibiina ku bisanja 2 eby’emyaka 5 buli kimu nga kitandika kisanja ekijja. Enongosereza eno yakukola ne ku Pulezidenti w’ekibiina, Secretary General n’abalala. Wabula kino tekikola ku muntu […]
Minisita Kitutu ne Nagoya bayimbuddwa
Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e Karamoja Dr. Mary Gorretti Kitutu Kimono wamu ne Mulamu we Nagoya Micheal Kitutu bayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti. Minisita Kitutu alagiddwa okusasula obukadde 10 obwobuliwo ate abamweyimiridde bbo obukadde 200 obutali bwabuliwo. Ye Nagoya alagiddwa okusasula obukadde 3 ezobuliwo abamweyimiridde obukadde 100 buli omu. Bano bakudda mu Kkooti nga 27-April-2023.