Breaking
News: Eggwanga lya Senegal kyaddaaki likakasiddwa nga linantameggwa lya Africa Cup of Nations AFCON 2025 oluvannyuma lwokuwangula okujjulira News: Olutindo-Kibazo-URA engeri gyegabamu emirimu yewuunyisa! Abasuubuzi kasita babawuddemu kiba kiwedde News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya tinta tinta ku abiri mu ettaano fayinolo esembedde nga 6122026 ku Summer Gardens Mukono.
ON NOW Neyimbira Byange 2026
Now Playing ยท 327 listening Simba FM Live
neyimbira show photo

On Air

Neyimbira Byange 2026

Jimmex - Sula - Liana

Luganda quick 9:00 PM - 12:00 AM
News

Temunziikanga nga Ekereziya tebawadde kyapa kyange – Omugenzi Thereza

June 13, 2025 · Mubiru Ali
Waliwo Famire ekyatubidde n’omulambo gw’omuntu waabwe eyaleka ekiraamo ekikambwe ekyobutaziikibwa okutuusa nga Ekereziya Katolika ebawadde ekyapa kye kyeyagiteresa. Maria Thereza Nakibuuka 95, ngabadde mutuuze ku kyalo Nakuwadde Bbira-Lubanyi mu Disitulikiti y’e Wakiso migambibwa nti bweyali atandise okunafuwa emyaka 10 egiyise nga mu nnyumba abeeramu bwomu yekengera abayinza okumuyigirira nebabba ebiwandiiko bye kwekusalawo okuteresa Ekyapa kye akiterese Ekereziya ya Nakulabye Catholic Parish wabula kyamubuukako okukitegeerako nti ekyapa kye kyakyuusibwa okuva mu mannya gge nekizzibwa mu ga Ekereziya.
Omukulu w’Ekika kya Nyonyi Namungoona, Richard Luswata Musajjakaawa, agamba nti babadde bagugulana ne Ekereziya okumala akabanga nga muzzukulu we abanja ekyapa kye wabula nga tebakimuwa.
Wabula, Rev Fr Richard Ssajjabi, chief executive officer wa Kampala Archdiocese Land Board, agamba nti Nakibuuka yawaayo ettaka lye eriweza yiika 1.4 eri Legion of Mary, ekitongole kya Ekereziya Katolika.
#ffemmwemmweffe