Entries by Mubiru Ali

Police yaakwongera okuyiwa ab’ebyokwerinda mu kalulu ka Kyaddondo East – Kasingye

Police egamba nti egenda kwongera okuyiwa ab’ebyokwerinda era eyongere okubinyweza mu Konsitiwensi y’e Kyaddondo ey’obuvanjuba nga beeteekerateekera okulonda okw’okujjuza ekifo ky’omubaka mu Palamenti ow’ekitundu kino okw’okubeerayo olwokuna luno.  Bino byogeddwa Omwogezi w’ekitongole ekya Police mu ggwanga,  Asan Kasingye bwabadde ayongerako ne bannamawulire ku kitebe kya Police e Naggulu mu Kampala.  “Director wa Operations akimanyi bulungi […]

Walagi woomu buveera abizaalidde bannannyini birabo – Maganjo

Police eyise bannannyini birabo by’omwenge abakakkalabiza mu Maganjo zzooni mu Munisipaali y’e Nansana mu Disitulikiti y’e Wakiso, olw’ebigambibwa nti waliwo abantu 11 abaafudde oluvannyuma lw’okwekatankira Walagi woomu buveera ssabbiiti bbiri emabega!!  Emilian Kayima nga ono ye Mwogezi wa Police mu Kampala n’emiriraano,  agamba nti waliwo abamu ku bannannyini b’ebirabo  abaayitiddwa nebabuuzibwa akana n’akataano oba nga […]

Abasiraamu basonze ssente okusengula bizinensi z’abatunda embizzi – Kamuli

Waliwo Abayisiraamu mu Disitulikiti y’e Kamuli  abasonze ensimbi obukadde 16 okusengula bizinensi z’abatunda embizzi wamu n’ebirabo by’omwenge mu kitundu webagenda okuzimba muzikiti gwabwe n’essomero.  Ensimbi zino zaakuliyirira abo abasenguddwa  era nga zaasondeddwa mu kusaala Eid olunaku olw’eggulo mu Munisipaali y’e Kamuli. Omubaka mu Palamenti owa Munisipaali y’e Kamuli , Hajati Rehema Watongola  ye omu yawaddeyo […]

Eid Mubarak

Tubayozaayoza mwenna baganda baffe Abayisiraamu olw’okumalako ekisiibo obulungi,  Muyogeeyoge olwokutuuka ku Eid Mubarak eno! Eid Mubarak! Eid Mubarak!

Eyali Minisita w’ebyobulambuzi Maria Mutagamba afudde

Maria Emily Lubega Mutagamba eyaliko Minisita  avunaanyizibwa  ku nsonga z’ebyobulambuzi (Tourism, World Life and Antiquities) afudde.  Mutagamba yafiiridde mu ddwaliro lya  Case Clinic mu Kampala akawungeezi akayise  gy’amaze  akabanga ng’ olumbe lumubala embiriizi.  Omuwandiisi omukulu mu Minisitule evunaanyizibwa ku nsonga z’ebyobulamu,  Dr. Diana Atwine akakasizza nti Omugenzi Kkansa y’amuviiriddeko kalumanywera okuva mu bulamu bwensi eno. […]

Omusibe omukazi atolose mu kkomera – Oyam

Hellen Acham, ng’abadde ku alimanda mu kkomera lya Gavumenti ery’ Oyam eyasibwa olw’okuteeberezebwa okutemula bba e Lira,  y’atolose mu kkomera, Achan yasooka kusindikibwa ku alimanda mu kkomera ly’e Lira mu mwezi gwomunaana wabula oluvannyuma n’akyusibwa okuzzibwa ku kkomera ly’e Oyam mu mwezi gwokuna omwaka guno.  Ofiisa Ritah Matuka nga ono y’avunaanyizibwa ku basibe abakazi mu […]

Akubye mukyalawe emiggo n’amutta lwa kumuyita muyaga – Luweero

Police mu ggombolola y’e Kalagala  eri ku muyiggo gwa musajja akubye mukyala we emiggo egimuserengesezza e kalannamo lwa kumuyita munywi wa njaga kkungwa – Muyaga.  Enjega eno egudde ku kyalo Wampeewo ekisangibwa mu ggombolola y’e Kalagala mu Disitulikiti y’e Luweero. Lule Benard nga wa myaka 35 y’akubye mukyalawe ategeerekeseeko erya Florence ow’emyaka 25 emiggo egimuggye […]

Abasimi ba zzaabu beegugunga lwakugobwa mu birombe – Mubende

Abasimi ba zzaabu e Mubende abasoba mu mitwalo etaano (50.000) bayingidde olunaku olwokubiri nga beegugunga okuwakanya eky’okubagoba mu birombe. Bano okutuuka okwegugunga kiddiridde okufuna amawulire nti Gavumenti eteekateeka okubagoba mu kirommbe omusimwa zzaabu  e Kitumbi Mubende. Ebirombe mwebagobwa kuliko eky’e Lujjinji A, Lujjinji B Lujjinji C okwo  kwogatta ne Kamapala ebisangibwa mu ggombolola y’e Kitumbi […]

Omusibe yeetugidde mu kaduukulu ka Police – Kyamuliibwa

  Abaserikale ku Police Post emu mu Disitulikiti y’e Kalungu bakubiddwa ekikangabwa enkya ya leero bwebagenze okuzuukuka nga waliwo omusibe eyeetugidde mu kaduukulu. Omugenzi abadde amanyiddwa nga Mukasa John ow’emyaka 32 yagombeddwamu obwala eggulo ng’agambibwa okuba nga yakkidde ennyumba ya muganda we n’agiteekera omuliro. Omwogezi wa Police mu maserengeta ga Yuganda, Lameck Kigozi akakasizza enjega […]