Asse omusuubuzi wa scrap e Mukono

Kwizeera Vianney 26, akwatiddwa Poliisi ku byekuusa ku butemu bw’omutunzi wa Scrap Agulupe Nuwagaba 25 nga abadde abeera Kasenge A, Mbalala mu district y’e Mukono olunaku lw’eggulo ku ssaawa nga kkumi ez’olweggulo.

Kwizeera yakubidde Nuwagaba nga amugamba nga bwalina scrap omungi gwatunda nga abalirirwamu emitwalo nkaaga (600,000/=)

Omugenzi yagenze ne mukwano ggwe e kavule gyebabadde balina okumusisinkana nga wewali ennyumba eyabaddemu scrap wabula webatuuseewo namugamba nti ennyumba yabadde nsibe.

Kwizeera yasabye mukwano gwa Nuwagaba agende amugulire airtime ono nafuna akakisa akasala Nuwagaba embazzi mu bulago nga tewali amuyamba. Ono bweyamaze okumusala nawalula omulambo gwe nagusuula mu nnimiro y’akasooli, era mukwano ggwe bweyakomyewo nga amunooya namutegeeza nga bweyabadde agenze ku kyalo ekiddako okugula scrap.

Ono yalabye omukululo gw’omusaayi gweyagoberedde nasanga mukwano ggwe nga mufu era bwatyo nadduka ku Poliisi nayo eyabitaddemu engatto netandika omuyiggo mweyakwatidde Kwizeera bwetyo nezuula n’embazzi gyeyakozeseza okutta Nuwagaba. OnoΒ  akuumirwa ku Poliisi y’e Mukono nga bwalinda okutwalibwa mu kkooti avunaanibwe.

 

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

Top Reviews

More Stories
Pulezidenti Museveni asisinkanye Omukama wa Bunyoro