Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Ku mwenge Balaam atuuse wayabikira, byakola biweddeyo. Express way saga….. News: Ba Directors, Management nAbakozi ba Radio Simba tutuusa okusaasira kwaffe eri abenju ya Alex Mukulu atuvudde ku maaso. News: Munnamateeka Kenneth Paul Kakande ……..Hon.
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing Simba FM Live

Owa Poliisi yetonze olw’okukuba teargas mu Balokole

July 13, 2018 · Mubiru Ali

District Police Commander w’e Soroti Geoffrey Kaheebwa yetondedde Abagoberezi ba Kurisitu mu kitundu kino olwakulagira abasirikale be okukuba omukka ogubalagala wamu n’amasasi nga babalemesa okuyingira mu kkanisa ya Light Resurrection Ministries nga bakulirwa Bishop James Israel Tukei.

Lifeline Church Ministries eyatandikibwawo Pastor Julius Peter Oyet, bali mu lutalo lwattaka n’abagoberezi ba Bishop Tukei’s.

Ono yabadde ayogerako eri aba Krisitaayo ku Awoja Bridge nga baniiriza Archbishop Henry Ntagali mu kitundu kyabwe. Ono yagambye nti kituufu yalagira okukuba omukka ogubalagala mu bagoberezi bano kuba baali bakola effujjo wabula nagamba nti tajja kukiriza ffujjo mumasinzizo naye nga tajja kukozesa maanyi mangi.