ABATAMIIVU BAKUBYE ABASIRIKALE BA POLIISI ABABADDE BABAKWATA E LUGAZI

Uganda Police Force e Lugazi ekutte abantu 71 nga bano basangiddwa mu mabbaala nga benywera mwenge ekikontana nebiragiro bya Ministry of Health- Uganda ebyokulwanyisa ekirwadde kya COVID-19.
Poliisi yakoze ebikwekweto mu oluvannyuma lwokutemezebwako abakulembeze b’ebyalo mu Lugazi nti waliwo amabbaala amatono ne loogi ezirina amabbaala nga zikola nga zikiriza abantu abafunye ssente za Ssaabaminisita Nabbanja okujja okuzisaasaanya.
Ebikwekweto byakoleddwa ebitongole byebyokwerinda ku ssaawa bbiri ezekiro. Abasirikale 2 balumiziddwa mu kikwekweto kino oluvannyuma lwabatamiivu okubakuba amayinja era batwaliddwa mu Ddwaliro e Kawolo okujanjabwa.
ASP Hellen Butoto
SEZIBWA REGION PRO

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply