Abantu 10 bakwatiddwa e Pallisa lwakutwalira mateeka mu ngalo

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Pallisa ekutte abantu ku 10 ku bigambibwa nti bayonoonye ebintu. Omwogezi wa Poliisi mu ttuntundu lya Bukedi Nortj Alaso Immaculate agamba nti waliwo omwami Omodoi David nga mutuuze w’e Nabitende mu Kamuge Subcounty mu Disiutlikiti y’e Pallisa eyakubiddwa Okurut David, Olinga ne Ojangole mu ka ttawuni ke Nabitende, Omodoi yagenza ku Poliisi naggulawo omusango wabula bweyabadde adda awaka naggwa mu kkobo webamulonze okumudusa mu Ddwaliro lya Pallisa General Hospital nafa nga yakatuusibwa.
Ab’oluganda lwe batabuse nga bamaze okutegeera nti affudde nebaluma amaka Ojangole, nebooka obusisira wamu n’ennyumba ennene.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply