Breaking
News: Yiino kkampuni ekoze tisaati ngomuntu ogyambalira omwezi gumu nga tagyozezza. News: Gasimbagane-Rwomushana-UPDF okugenda e Gaza tugenda mu bulabe. Ente okufa obutwa, Govt eriwa? News: OLUTINDO-Mukose-Enaku eri mu basement, waliwo abalina ebituli mu magulu nga babayisaamu drill
▶ UP NEXT Lutaba Njaliire 4:00 PM - 8:00 PM
Now Playing ยท 174 listening Simba FM Live
News

Aba famire ya Pte Sabiiti baagala mulambo gwa mwana waabwe

May 10, 2023 · Mubiru Ali

Aba Famire ya Private Wilson Sabiiti ku kyalo Mubali, Kijura Town Council mu Disitulikiti y’e Kabarole bavuddeyo nebalajanira eggye lya UPDF okubawa omulambo gw’omuntu waabwe baguziike. Bano era basabye Gavumenti ebategeeze oba nga balina kyebalina okuwaayo okusobola okuweebwa omulambo gw’omwana waabwe.

Pte Sabiiti ku lwokubiri nga 2-May yakuba Minisita Rtd. Col. Charles Engola amasasi agamuttirawo n’oluvannyuma naye neyetta wabula okuva olwo tebalina kyebaali bawulidde kuva eri Gavumenti oba eggye lya UPDF ku bikwatagana mulambo gw’omwana waabwe.

Saidi Biryomumisho, ng’ono ye mukulu w’omugenzi agamba nti n’abantu abaali bazze okubaziikirako okuva ebweru wa Kabarole basazzeewo okuddayo mu maka gaabwe nga kati n’ekyokuliisa abakungubazi tebakirina.

Oliver Musiimenta, muto wa Sabiiti agamba nti abantu okuva olwokusato oluwedde bababuuza ddi lwebagenda okuziika nabo kyebatasobola kwanukula. Ono gamba nti Gavumenti ebabuulire oba nga bebalina okukima omulambo gwa muganda waabwe bajja kwesonda bagukime.

ย