Uganda ewereddwa okuddamu okufuna visa za UAE
Eggwanga lya United Arab Emirates (UAE) litadde Uganda ku lukalala lw’Amawanga geriweze obutaddamu kufuna visa okutandika n’omwak gwa 2026 okuli ezokulambula wamu n’okukola.
Kuno kuliko amawanga amalala okuli; Afghanistan, Libya, Yemen, Somalia, Lebanon, Bangladesh, Cameroon, ne Sudan.
Bannayuganda ngabasangiddwa nga gyebali mu UAE bbo sibakukosebwa. Bino webigidde nga BBC yakamala okukola emboozi ku Bannayuganda abawala abatwalibwa e Dubai nebabakozesa okwetunda ngeyogera Charles Mwesigwa, abadde agambibwa okulimbalimba Abaana abawala nabatwala emirimu ngabasuubizza emirimu okuli okukola mu woteeri ne supermarkets nafundikira ngabatutte mu kwetunda.
#ffemmwemmweffe

