Breaking
News: Atannaba kwewandiisa mu Ngule obudde buggwaayo yanguwako ku simba e Bukoto oleme kusubwa. News: Hon. Paulson Luttamaguzi …..Lwaki temuleka Bannayuganda ababa bekoledde akassente kaabwe wadde kava bweru okufuna akassente kaabwe mu bwangu News: Olutindo -Kalanzi- Abasajja tebalina kisa, bakuba akaana kange oluyi olwokubuuza lwaki bankuba!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 721 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo natiisatiisa obutadda mu Kkooti ku musango gwokulya olukwe mu Nsi ogumuvunaanibwa nga agamba nti Omulamuzi

March 12, 2026 · Radio Simba

🚨 Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye avuddeyo natiisatiisa obutadda mu Kkooti ku musango gw’okulya olukwe mu Nsi ogumuvunaanibwa nga agamba nti Omulamuzi Emmanuel Baguma ayolesezza kyekuubiira atagambika nga akwasa oludda oluwaabi ekisa.
Besigye ategeezezza nti wakusalawo okusigala awaka (ekkomera) aleke Kkooti esalewo gyeyagala.
Okwogera bino kidiridde oludda oluwaabi okusaba Kkooti okukweka ebikwata ku bajulizi 6 abalumiriza Besigye ne banne era omulamuzi nakikiriza.
Besigye ne Bannamateeka be bagamba nti okusaba kuno tebakufunako mu buwandiike nabwekityo tebasobola kuwa ludda lwabwe ku kino.

Omulamuzi Baguma alagidde abasibe 3 ne Bannamateeka baabwe baweebwe ku bbaluwa eno olwaleero nga babasuubira okwanukula nga 26 – March nga tebanadda mu Kkooti nga 31-March.

🌐 Soma ebipya: https://www.radiosimba.ug