BREAKING NEWS
Observer: Minister Anite urges boda boda riders to save for the future Observer: Woman arrested with over 100kgs of marijuana in Arua Pulse Uganda: Who is Lina Zedriga, the woman chosen to lead NUP in Bobi Wine’s absence? East News: KAMPALA: Two Women Arrested For Impersonating Landowner to Process Loan East News: Namisindwa Parish Chiefs Protest Shs179M Allowance Delay Pulse Uganda: World Oral Health Day: Unilever campaign targets school children in Kampala, Wakiso MBU: Unilever Uganda, Pepsodent Oral Health campaign targets 100,000 pupils in Central Uganda MBU: Smirnoff Fiesta, Etania bring unforgettable energy to Bbosa Hostel courtyard in Nkozi

97.3 FM Kampala

92.1 FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

✓ ISO 9001:2015 Certified

Now Playing
Radio Simba Live
News

Ssekikubo yasomba agavubuka okuva e Kawempe – Brig. Gen. Rweshande

Rtd. Brig. Gen. Emmanuel Rwashande avuddyo neyegaana ebyokulagira amaggye okukuba abantu amasasi e Lwemiyaga wiiki ewedde agaviirako Fred Ssembusi okuttibwa nabalala nebalumizibwa okwali negwebavuganya naye Omubaka Theodore Ssekikubo.

Brig. Gen. Rwashande agamba nti abawagizi ba Ssekikubo bagamba nti babasomba kuva Kawempe okugenda e Ssembabule bebatandika okukola effujjo nebalwana n’abamaggye nti era embeera yasooka kubeera ya mirembe nga tebanatankuula b’Amaggye bwebalumba nebabaggyako emmundu.

Rwashande agamba nti abasirikale ba UPDF baali bakozesa miggo okukuuma emirembe nti wabula omusajja omu bweyalumba omusirikale nalwana naye nakuula magazine ku mmundu ye kyekyaleeta obuzibu..

Ono agamba nti yewuunya Ssekikubo okumulumiriza okulagira abasirikale okukuba abantu so nga ne mu kifo bino webyali ye teyaliiwo yadde omuduumizi we. Ono alumiriza Uganda Police y’e Lwemiyaga gyagamba nti ebikirira Ssekikubo ngekweka obujulizi. Ayongerako nti Ssekikubo yakuba abawagizi be naye Poliisi negaana okumuggulako omusango era yasazeewo kuddukira ku Poliisi e Masaka gyaba aggulirawo omusango.

Leave a Reply