Breaking
News: Omulamuzi wa Kkooti Enkulu Alex Ajiiji abadde mu mitambo gyOmusango gwabatta Suzan Magara avuddeyo nasiima Ssaabaduumizi wa Uganda Police Force News: Kkooti Enkulu mu Kampala esalidde Hajarah Nakandi ne Buwembo Musa aka Abas ekibonerezo kyakuttibwa lwakuwamba ne batta Susan Magara 28. Abantu News: Olunaku olwaleero Ababaka ba Palamenti abatuula ku Kakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku byokwerinda bakunyizza abakungu okuva mu bitongole bya
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing ยท 224 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Gavumenti yeyamye okuyimbula abasibe – LOP Mpuuga

December 10, 2023 · Mubiru Ali
Akulira oludda oluwabula Gavumenti Hon. Mathias Mpuuga Nsamba avuddeyo nategeeza nti enkya yaleero afunye ebbaluwa okuba ewa Attorney General ngeyogera ku nsonga Palamenti gyeyayogeddeko eyabantu babulijjo okuvunaanirwa mu Kkooti y’amaggye ssaako nabo abamaze ebbanga mu makomera nga tebasimbiddwa mu kkooti.
Ategeezezza nti Attorney Genera asuubizza okukwatira awamu n’ebitongole ebirala ebyamateeka okulaba nti ekiragiro kya Palamenti kiteekebwa mu nkola okugeza nti abo abamaze ebbanga mu makomera nga tebavunaanibwa mu Kkooti okuyimbulwa ku kakalu ka kkooti oba okuteebwa awatali kakkwakulizo konna.