97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Ssebo Omulamuzi omusajja namufumbirwa lwakuba nali sirina wembeera nakyakulya, nali simwagala

Kawongolo Kataswa yaddukira mu Kkooti y’Omulamuzi e Jinja mu 2022 ngayagala ebatawulule mukyala we Claudine Uwineza gweyawasa mubufumbo obutukuvu nga 14-May-2011 nebazaala n’Abaana 3, wabula nga 3-12-2018, Uwineza yanoba okuva mu maka natandika okubeera yekka eya gyeyayendera nazaala omwana nga mwaka 1 n’ekitundu.
Nga 14-7-2022, Uwineza yaweebwa empaaba ya Kawongolo aweeyo okwewozaako kwe mu Kkooti nti wabula teyayanukula.
Nga 6-6-2025 yayitibwa okubeerawo nga Kkooti ewulira omusango era najja bweyabuuzibwa ku byokunoba yakiriza nti kituufu yanoba era yayenda ku musajja omulala nategeeza nti kino yakikola kuba yafumbirwa Kawongolo nga tamwagala wabula olwokuba yali yetaaga owokusula n’ekyokulya mu kaseera ako yakiriza okumufumbirwa.
Kkooti yabakiriza okwawukana era nekiriza omukyala okulaba ku baana wamu n’okubeera nabo mu luwummula wiiki lwakiri 2 singa mu maka mwabeera muba temuli musajja.

Leave a Reply