Breaking
News: Musveni toli mubi nnyo okutuuka ku ssa eryo, naye tukukolere ki otuviire mu mirembe Ssebo – Abdallah News: Mukulu Odonga Otto CV nga nnene gyataddewo, kati ayagala Hon. Daudi Kabanda ayanukule ki? News: Gen. Kahinda Otafiire Lwakiri nfiira ku magulu nga nnwana okusinga okuwangaalira ku maviivi gange nga nsaabiriza….
ON NOW Emambya ESaze ▶ UP NEXT Binsangawano 6:00 AM - 10:00 AM
Now Playing ยท 186 listening Simba FM Live
emambya show photo

On Air

Emambya ESaze

Kakos Soldier

Waking you up very early, with thrilling stories… 4:00 AM - 7:00 AM
News

Nandala leeta obujulizi obulaga nti mwatuula okugoba Ssemujju – Sipiika Among

August 16, 2023 · Mubiru Ali

Sipiika wa Palamenti Anita Among avuddeyo nasaba Ssaabawandiisi wa Forum for Democratic Change Nathan Nandala – Mafabi okuleeta obujulizi obulaga nti yatuula n’Ababaka ba FDC mu Lukiiko nebatuuka kuzinkiriziganya okugoba Nampala waabwe mu Palamenti Hon. Ibrahim Ssemujju Nganda era ayongedde nasaba abakulembeze b’ekibiina kya FDC okugonjoola ensonga ezaleeteddwa mu kwemulugunya kw’Ababaka nti singa banalemererwa kijja kutaataganya enkola ya Palamenti.