Okuwulira omusango oguvunaanibwa eyali Omuwandiisi omukulu mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi Geraldine Ssali wamu n’Ababaka 3 ne Munnamateeka ogwokubba obuwumbi 7 nga ssente zino zaalina okuliyirira aba Buyaka Growers Cooperative Society gutandise okuwulirwa ku Kkooti Enkulu evunaana abali b’enguzi n’abakenuzi mu Kampala.
Bano bonna begaanye emisango gino egibavunaanibwa mu maaso g’omulamuzi Jane Kajuga.
Ssali avunaanibwa wamu n’omubaka wa Igara East Micheal Mawanda , owa Elgon County Iganatius Mudimi, n’owa Busiki County Paul Akamba , ne Munnamateeka Taintankonko wamu n’okungu omulala okuva mu Minisitule y’Ebyobusuubuzi.
#ffemmwemmweffe
Bya Chrisitina Nabatanzi
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.