Ssaabasajja Kabaka aguddewo emipiira gy’amasaza

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Omutanda atuuse ku kisaawe ku ssaawa 9:00 ez’olweggulo era ayaniriziddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga, Minisita w’Emizannyo Henry Sekabembe Kiberu, ne Ppookino Jude Muleke.
Beene alambuziddwa ebirabo ebimuweereddwa oluvannyuma by’asiimye ne gafuuka Amakula.
Oluvannyuma Ssaabasajja alambudde ennyiriri z’abazannyi ba tiimu zombi Buddu ne Mawogola.
Beene awandiise ku mupiira era n’agusamba ng’akabonero ak’okuggulawo empaka era omupiira ne gutandika.
Mu kusooka, Katikkiro yatongozza empaka zino era naakwasa abaami b’amasaza emijoozi n’emipiira egiwandiikiddwako amannya g’amasaza gaabwe wamu ne ssemateeka afuga empaka z’omupiira gy’amasaza.
Buddu ettunse ne Mawogola, nga gulamuddwa Vincent Kavuma, ng’ayambiddwako abawuubi b’akatambaala, Zziwa Charles Edward, Mafumu Mustafa, Kiwanuka Vincent nga “fourth official”, Ssonko Mark nga kkomisona, ne Sam Mpiima “March accessor”.
Omupiira guwedde maliri 0-0

 

#MasazaCup2022
Share.

Leave A Reply