FUFA eyimirizza omutendesi wa Uganda Cranes

OGIRA ODDAKO EBBALI;
Omwogezi w’ekibiina ekitwala omupiira ogw’ebigere mu Ggwanga ekya Federation of Uganda Football Associations (FUFA) Ahmed Hussein avuddeyo nategeeza nga Olukiiko olwokuntikko olwa FUFA bwerwasabye omutendesi wa ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes Johnathan McKinstry okugira nga addako ebbali okuva nga 2 – 31 March bamale okwekeneenya bwazze akola emirimu gye nga kati omumyuuka we yali mu mitambo.

Leave a Reply