Kyewuunyisa nti mu ntuula za Palamenti ezibaddengawo okujjukira abantu ab’enjawulo mu Palamenti Ssaabaminisita Robinah Nabbanja oba abamyuuka be babaddengawo okukulemberamu oludda lwa Gavumenti mu ntuula ezenjawulo ezijjukira abagenzi, ku mulundi guno Gavumenti yesambye olutuula lwaokujjukira abadde Omubaka wa Kawempe North Muhammad Ssegiriinya era kiwalirizza Sipiika Among okuyita Omubaka Abdu Katuntu okusoma obubaka obukungubaka.