Pulezidenti wa Democratic Party Uganda era Minisita w’ebyamateeka Norbert Mao; “Abantu abamu bagamba nti kizibu nnyo okufuna kkaadi ya DP. Nti bwoba oyogala okukwatira ekibiina bendera, bakubuuza oli wa DP ki. Abalala bagamba nti DP ya National Resistance Movement – NRM.
Naye singa Uganda ebadde n’omusolo ku busiru; lyandibadde Ggwanga gagga nnyo. Ebibiina byobufuzi birina bisobola okukolera awamu, omukago oba okwegatta.”