Sigenda kuwagira gwebanaawa kkaadi ya NUP mu Mubende Municipality – Sumayah Nabawanuka
Munnakibiina kya National Unity Platform eyegwanyiza ekifo ky’Omubaka wa Mubende Municipality Sumayah Nabawanuka bweyabadde ku Mubende FM yavuddeyo nategeeza nti singa taweebwe kkaadi kukwatira Kibiina bendera si wakuwagira anaaba aweereddwa kkaadi kumwongera masanyalaze kuba ekibiina kijja kuba kiraze nti yasingamu obuwagizi teyetaaga kuyambibwako.
Nabawanuka Kkaadi agivuganyako ne Bob Richard Kyamanywa ne Ismael Ssegawa aka Sureman Ssegawa. Ono yategeezezza Abawagizi be okuwaayo erinnya lye abakungu okuva ku Kitebe bwebanajja okwekeneeya bwakola mu kitundu.
Moses Musaasizi Ssamata, Ssentebe wa NUP mu Mubende Municipality yavumiridde ebigambo ebigambo bya Nabawanuka namunenya okwawukana ku mutima gw’ekibiina. Wabula yategeezezza nti wakukuba olukiiko mubunambiro okukakasa oba nga ebigambo bino byayogeddwa Nabawanuka.

