Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “nze ne Pulezidenti Dennis Sassou Nguesso oluvannyuma twegatiddwako Pulezidenti Felix Tshisekedi Democratic Republic of the Congo ne Pulezidenti Faure Essozimna GnassingbĂ© EyadĂ©ma owa Togo twatuddemu okuteesa ku nsonga z’emirembe wa n’ebyokwerinda mu Afirika. Nsiima nnyo HE. N’guesso olwokunyaniriza.
Nakyaddeko ne ku kifo kya bio milk processing unit, nga kuliko ffaamu y’ente ennene e Ranchikila ne ffaamu ya maaya esangibwa e Olenga. Bwetwongera omutindo ku mata tusobola okubeera nakatale akanene mu Afirika era yensonga lwaki essita tulitadde ku byabulimi nabulunzi.”