Ponsiano Lwakataka akaligiddwa emyezi 16

Omulamuzi wa Kkooti y’eddaala erisooka e Mukono Peace Koburunga asindise omuvuzi w’emotoka z’empaka Ponsiano Lwakataka mu nkomyo ankulunguleyo emyezi 16 oluvannyuma lwokumusingisa emisango 2 okuli okumenya ennyumba yomukadde ku ttaka e Kiwanga mu Mukono wamu n’okusalimbira ku ttaka eritali lirye.
Kigambibwa nti Lwakataka ngayambibwako abantu abalala 8 mu January 2019 bamenya ennyumba ya George Kawooya eyali esangibwa e Kiwanga ku ttaka eriweza yiika 2. Kawooya agamba nti ettaka lino yaligula ku Taata wa Lwakataka Anthony Kiggundu mu myaka gye 2000.
Ono abadde ku alimanda wabula olwaleero omulamuzi amusalidde ekibonerezo kya myezi 16.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply