BANNAMATEEKA BA FAMIRE YA SSEBULIME BAAGALA MINISITA NANTABA AKEBEREBWE OMUTWE

Bannamateeka bafamire ya Ronald Sebulime aba Muwada and Co. Advocates bavuddeyo nebawandiikira Gavumenti nga bwebalina ekigendererwa ekyokugikuba mumbuga nga bayita mu Attorney General nga kuno kuliko Hon. Nantaba Aida Erios, Abasirikale ba Poliisi 4 okuli CPL Ssali Edward, PC Opira Ronald, PC Baganza Ronald, PC Cherotich Edward. Bano baagala Gavumenti ebaliyirire obuwumbi 10 olw’okutta omuntu waabwe.
Β 
Bano bawadde Gavumenti enaku 5 nga baagala ekole bino;
a). Gavumenti eveeyo evunaane abo bonna abenyigidde mu butemu bwa Ssebulime.
b). Gavumenti ya Yuganda eveeyo yekebejje omutwe gwa Hon. Aidah Erios Nantaba ebannyonyole bulungi ku ntegeera ye olw’ebikolwa nebyeyayogera nga Ssebulime tanatibwa n’oluvannyuma nga atiddwa kuba bireetawo okubuusabuusa.
c). Gavumenti eriyirire ab’ennyumba ya Ssebulime obuwumbi 9,949,000,000 olwokutta Ssebulime.
d). Gavumenti eddize Famire ensimbi wamu n’ebintu byonna byerina nga bikuumirwa ku Poliisi nga byasangibwa n’omugenzi Ssebulime.
e). Poliisi ya Yuganda okubawa Alipoota eyakolebwa oluvannyuma lw’okwekebejja omulambo ggwa Ssebulime.
f). Gavumenti okusasula Bannamateeka ensimbi zaabwe obukadde 19.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
Bbaasi ya Swift Safaris egudde e Mbarara