Omulamuzi agaanyi okuwa Gavumenti olukusa okutwala essimu ya Besigye
Omulamuzi wa Kkooti y’e Nakawa Christine Nantege agaanye okuwulira okusaba kwa Gavumenti kweyateekayo mu Kkooti eno ngesaba eweebwe olukusa okuwamba essimu za Dr. Kizza Besigye wamu n’omuyambi we Hajji Obied Lutale Kamulegeya ezekebejje erabe oba esobola okufunamu obujulizi bwonna nategeeza nti Kkooti y’e Nakawa terina buyinza obwo kuba Besigye ne banne batwalibwa dda mu Kkooti Enkulu okuvunaanibwa.
Ono ayongeddeko nti era talina buyinza buva mu musango guno, era abasindise baddeyo ku alimanda mu kkomera e Luzira nga bwebalindirira okutwalibwa mu Kkooti Enkulu batandike okuvunaanibwa.
Bya Christina Nabatanzi

