Omulamuzi agaanye Besigye okwemulugunya
Omulamuzi Emmanuel Baguma alagidde Rtd. Col. Dr. Kizza Besigye abadde ayagala okubaako ensonga gyeyemulugunya ensonga ye agiyise mu Bannamateeka be.
Oluvannyuma omulamuzi akyuusizzaamu namulagira ateeke okwemulugunya kwe kwonna mu buwandiike namusuubiza okumwanukula nga 8-October-2025.
Wabula Bannamateeka ba Besigye bawakanyizza ekiragiro ky’Omulamuzi nebategeeza nti tewali tteeka ligaana muntu avunaanibwa kuvaayo neyemulugunya mu buntu.
Bya Christina Nabatanzi

