Okulunda enkoko ezisoba mu 1000 olina okusaba olukusa okuva mu NEMA
Obadde okimanyi nti kimenya mateeka mu Uganda okulunda enkoko ezisoba mu 1000 nga tosoose kufuna lukusa nakulambikibwa okuva mu kitongole ekirera obutonde bw’ensi ekya National Environment Management Authority (NEMA) Uganda?
Etteeka lya NEMA erya The National Environment Act 2019 akawaayiro 112 schedule 4; ligamba nti bwoba onalunda enkoko ezisoba mu 1000 obeera olina okufuna ‘Project brief’ okuva mu NEMA.
Munnamateeka wa NEMA Rwam Kamara agamba nti enkoko bwezisoba mu 1000 naddala mu kitundu ekibeeramu abantu wabaawo okwonoona empewo essibwa abantu nga kiba tekituukana namateeka bwatyo agamba nti obeera olina okufuna okulambikibwa okuva mu NEMA.

