Breaking
News: Omugga Ssezibwa mulongo, gwazaalibwa nomugga omulala, Mugga ki ogwo? Omukontanyi kimukanudde amaaso News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya ebyayo tebiggwaayo etinta butinsi ne Leero ekiro girindirire ku nnya. News: Katikkiro Charles Peter Mayiga agguddewo mayiro ya Bulungibwansi ku kyalo Kiryammuli mu ggombolola ya Ssaabawaali Gombe. Asimbye omuti
ON NOW Olutindo ▶ UP NEXT Simba Sports 8:00 PM - 9:00 PM
Now Playing ยท 340 listening Simba FM Live
olutindo show photo

On Air

Olutindo

Peter Kibazo - Evans Walusimbi

7:00 PM - 8:00 PM 7:00 PM - 8:00 PM
News

Akakiiko kebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda…

January 5, 2026 · Radio Simba

Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda kawandudde abantu 11 ababadde besimbyeewo ku kifo kya Mmeeya wa Makindye nekalekamu Munnakibiina ki National Resistance Movement – NRM, Yasin Omari nga tavuganyiziddwa. Yasin yateekayo okwemulugunya ku banne 11 beyali avuganya nabo ku kifo kino.
Okuwandulwa kwabano kusimbiddwa ku nsonga okuli: abesimbyeewo okulemererwa okuweza emikono 20 okuva mu buli muluku okubateerako emikono, okukozesa emikono gyabatali batuuze b’e Makindye n’ebirala.
Kubasuuliddwa kuliko Munnakibiina ki National Unity Platform, JEEMA ne PFF n’abalala.
#ffemmwemmweffe
#ugandaelections2026
#UgandaDecides2026
#UgandaDecides

Radio Simba News