Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-M7 atuleetera ebizibu atukaka system yAbazungu! Balaam amanye omulimu ggwe! News: Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II buli lwalabikako eri abantu be liba ssanyu gyereere! News: Mmeeya wa Nansana Municipality Sserunkuuma JohnBosco olunaku olwaleero asisinkanye abasuubuzi bo mu Katale ka Nansana Daily Market, ku Masitowa,
ON NOW Ekiggunda
Now Playing ยท 158 listening Simba FM Live
ekiggunda show photo

On Air

Ekiggunda

DJ Jet B

8:00 PM - 12:00 AM 8:00 PM - 12:00 AM
News

Ebibuuzo bingi ku wa Poliisi eyasse omuyindi – Pulezidenti Museveni

May 13, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni; “Bannayuganda naddala Abazzukulu, nsaasira nnyo Abayindi olwokufiirwa omuntu waabwe Uttam Bhandari eyatiddwa omusirikale wa Uganda Police Police Constable Wabwire Ivan. Ensobi zonna ezakoleddwa nnyangu okulondoolwa. Okugeza ebibuuzo ebisookerwako;
1. Omusirikale atabadde ku mulimu olunaku olwo yatuuse atya okufuna emmundu?
2. Yafunye olukusa okuva wakuuma n’emmundu okugenda okuzza omusango?
3. Emmundu ziterekebwa zitya ku Poliisi?
4. Eyakubiddwa amasasi, mu kifo wakolera waliwo ebyokwerinda ebyateekebwawo?
5. Abakuumi abobwannanyini bakiriza batya omuntu alina emmundu okuyingira ekizimbe ngera si mukuumi waawo?
Waliwo ekibuuzo ku bwongo bw’omusirikale ono.
6. Abadde atawanyiizibwa obuzibu bwonna ku bwongo? Bwekiba bwekityo lwaki obukulembeze bwa Poliisi kino tebwakizuula nebubaako kyebukolawo? Ebyokuddamu eri ebibuuzo bino bijja kutuyamba okuziba emiwaatwa ggyonna egiri mu byokwerinda.”