Breaking
News: Hon. Zambaali Bulasio Mukasa News: Omubaka akiikirira Nansana Municipality mu Palamenti Munnakibiina ki National Unity Platform Zambaali Bulasio Mukasa avuddeyo nasaba Gavumenti News: Minisita wAmawulire, Okukunga Abantu era Omwogezi wObwakabaka, Oweek.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing ยท 1,282 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM

Nze nali kayungirizi munteseganya zokuyimbula Ababaka Ssewanyana ne Ssegiriinya era sejjusa – Norbert Mao

February 22, 2023 · Mubiru Ali
Pulezidenti wa Democratic Party Uganda era Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Ssemateeka Norbert Mao yavuddeyo nategeeza Bannamawulire nga bweyalina omukono ogw’amaanyi mu kulaba nti Ababaka Bannakibiina kya National Unity Platform – NUP okuli owa Kawempe North Hon. Muhammad Ssegiriinya n’owa Makindye West Hon. Allan Ssewanyana bayimbulwa ku kakalu ka Kkooti.
Mao agamba nti yasisinkana Ababaka bano emirundi egiwerako nti era okuyimbulwa ku kakalu ka Kkooti ddembe lyabwe eribaweebwa ssemateeka wadde nga ensonga yaabwe yalimu ebyobufuzi.