Breaking
News: Moses Bekabya yalimba ngamaze nokukuba ebirayiro ngakutte ekitabo ekitukuvu! News: Ekimotoka kyenkokoto ekya Hardware World kyabuddeko mixer neggwa eri olunaku lweggulo! News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa matenda ekintabuntisi leero ku nnya ekiro girindirire ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga
ON NOW Simba Taxi ▶ UP NEXT Ebyemizannyo 1:00 PM - 2:00 PM
Now Playing ยท 516 listening Simba FM Live
simba show photo

On Air

Simba Taxi

Connie Nalugwa

Mid MORNING SHOW 10:00 AM - 1:00 PM
News

Poliisi ekutte Fr. Dominic Alinga ku byokuttibwa kw’omukozi wa URA

August 5, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force Kituuma Rusoke avuddeyo nategeeza nti nga 3-August-2024 ku ssaawa musanvu n’eddakiika 50 ezookumakya bafuna lipooti nti waliwo omuntu eyali atiddwa ku luguudo lwa Kitooro to Entebe International Airport. Omugenzi yategeerekeka nti ye Ngorok John Bosco, 30 nga mukozi ne Uganda Revenue Authority (URA) Domestic Tax Department. Ono yali afumitiddwa mu bulago ne ku mutwe omuntu atanategeerekeka.
Ngorok yaddusibwa Poliisi mu Ddwaliro lya Grade B wabula nebabategeeza nti yali afudde oluvannyuma lw’eddakiika 20. Poliisi yatandikirawo okukola okunoonyereza nekwata Dominic Alinga, nga ffaaza wa Irir e Nakapiripirit. Alinga abadde yagobwa okuva mu Church, nga Bishop yali amulanga kubba kiweebwayo ekiweza obukadde 6.
Poliisi etandise okunoonyereza ku mukono gwa Alinga mu ttemu lino.

#ffemmwemmweffe