Nakku agiddwa mu lwokaano lw’Abavubuka
Akulira Akakiiko k’Ebyokulonda aka National Resistance Movement – NRM Dr. Tanga Odoi yaggye Fiona Nakku mu lwokaano lw’Omubaka akiikirira Abavubuka oluvannyuma lwa NIRA okukakasa nti ono alina emyaka 31 ngasukka mu myaka gy’obuvubuka egiri wakati w’emyaka 18-30. Ono mu 2021 yavuganyaako ku kifo ky’Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Busia. Ono muganda w’omuwanika wa NRM Barbra Nekessa.

