Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya tinta tinta ku abiri mu ettaano ffena tweyiwe ku Summer Gardens Mukono nga 6122026 fayinolo
News: Abantu 2 bga kuliko Omusirikale wa Uganda Police Force wamu nomusomesa basimbiddwa mu Kkooti yOmulamuzi etuula e Kanyanya nebavunaanibwa omusango
News: Ekibiina ki National Unity Platform kitegese okujjukira Bannakibiina abatirimbulwa abebyokwerinda mu kwekalakaasa okwaliwo wakati wa 18 ne 19
News
Nakku agiddwa mu lwokaano lw’Abavubuka
August 19, 2025 · Mubiru Ali
Akulira Akakiiko k’Ebyokulonda aka National Resistance Movement – NRM Dr. Tanga Odoi yaggye Fiona Nakku mu lwokaano lw’Omubaka akiikirira Abavubuka oluvannyuma lwa NIRA okukakasa nti ono alina emyaka 31 ngasukka mu myaka gy’obuvubuka egiri wakati w’emyaka 18-30. Ono mu 2021 yavuganyaako ku kifo ky’Omubaka Omukyala owa Disitulikiti y’e Busia. Ono muganda w’omuwanika wa NRM Barbra Nekessa.