Mukyala w’Omukulembeze w’Eggwanga era Minisita avunaanyizibwa ku by’enjigiriza n’ebyemizannyo Janet Kataaha Museveni avuddeyo nalagira amatendekero naddala agalina amasomo gebyobusawo okusala ku muwendo gw’abayizi gwebayingiza ku masomo gano okusobola okukendeeza ku mujjuzo oguli mu malwaliro gyebagenda okutendekebwa.
Minisita yategeezezza nti Gavumenti terina busobozi bwongera kugaziya ku malwaliro agaliwo kati oba okuzimba amalala abasawo bano abatendekebwa mwebanakolera. Ono yagambye nti amagezi amangu ennyo agalina okusalibwa okumalawo ekizibu kyomujjuzo gwabasawo mu malwaliro gano kwekusala ku muwendo gwabayizi abatwala amasomo gano mu bwangu ddala.
Leave a Reply
You must be logged in to post a comment.