Ku bbanja Uganda lyerina buli Munnayuganda obeera obagibwa 2.3M

Buli Munnayuganda obangibwa obukadde 2 mu emitwalo 30 ku bbanja Uganda lyerina:
Mu September 2024, Uganda yali etubidde mu mabanja ga bwesedde 107 okusinziira ku kunoonyereza okwakolebwa Uganda Debt Network nga kino kitegeeza nti ku bbanja lya Uganda buli Munnayuganda obeera obangibwa obukadde 2 mu emitwalo 30. Gabanya obwesedde 107 mu Bannayuganda obukadde 45 mu emitwalo 90!
Peninah Nayiga, Assistant Research Officer agamba nti obwesedde 20 obuteekebwawo buli mwaka gwebyensimbi okusasula amabanja zandibadde zikozesebwa okutumbula obuweereza obwenjawulo mu misoso gyebyalo.
Leave a Reply