Kkooti esudde omubaka wa Bukomansimbi North

Pinterest LinkedIn Tumblr +
Kkooti Enkulu mu Disitulikiti y’e Masaka eggyeeyo Omubaka wa Bukomansimbi North Munnakibiina kya National Unity Platform Dr. Christine Ndiwalana mu Palamenti oluvannyuma lwokukizuula nti yagingirira ebiwandiiko byobuyigirize.
Kkooti eragidde Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Electoral Commission Uganda okuddamu okutegeka okulonda mu kitundu kino.
Kkooti ebadde ekubirizibwa Omulamuzi Ketra Katunguka yalagidde baddemu okutegeka okulonda. Eyaliko Omubaka wa Bukomansimbi Munnakibiina kya, Ruth Katushabe yeyaddukira mu Kkooti ngawakanya empapula z’obuyigirize Ndiwalana zeyakozesa. Kkooti eragidde Ndiwalana asasule Katushabe ssente zakozesezza mu musango guno nga agamba nti Ndiwalana yalimba nti yalina satifikeeti ya A’Level so nga tagiirina.
Okusinziira ku Kkooti, empapula z’obuyigirize okuva ku St Peters Nsambya Nursing Training School zaali si ntuufu.
Ndiwalana alayidde nti agenda kutereeza ensobi eziri mu mpapula ze ezobuyigirize addemu okwabika ne Katushabe mu kalulu akagenda okuddamu.
Share.

Leave A Reply