Kadaga kati adaaga lwa kifo mu NRM, Among amuwuzze akalulu
Sipiika wa Palamenti Annet Anita Among awangudde Rt Hon Rebecca Alitwala Kadaga ku kifo ky’omumyuuka wa Ssentebe omukyala ne bitundu 92.8%.
Among awangudde n’obululu omutwalo gumu mu lukumi mu lukaaga mu kinaana (11680) ye Kadaaga nafuna obululu 902.
Bino birangiriddwa akulira akakiiko k’ebyokulonda mu National Resistance Movement – NRM Dr Tanga Odoi mu kiro ekikeesezza olwaleero.
Bya Barbara Nabukenya

