Funayo akadde ojjukire ku bewasoma nabo
Eri Banange benasomako nabo,
Wayiseewo akabanga akawerera ddala okuva lwetwamaliriza emisomo buli omu nakwata lirye. Nsuubira nti obulamu tebubadde bubi yadde nga wabaddewo okusoomozebwa.
Abamu ku ffe twafumbirwa oba twawasa, tukuzizza famire zaffe yadde ngabalala bayinza okuba nga bakyanoonya webayinza okugumira. Abamu kuffe tulina emirimu era nga tukola nnyo okulaba nti tufuna mwebyo byetwasomerera ate abalala twandiba nga tukyanoonya mirimu yadde nga nempapula zobuyigirize tuzirina so nga abalala bandiba nga bayita mu bulamu obuzibu ennyo obwokufiirwa, okusibwa si nakindi okuwangaalira ku mbalaza.
Kyanaku nti banaffe abamu batuva ku maaso; Omukama abawumuze mirembe, wabula kino kitujjukiza nti obulamu kyamuwendo.
Obulamu tebubadde bwangu eri buli omu. Bangi kubatwalanga okusoma ng’ekikulu ennyo bakyalindirira kufuna mirimu so nga bangi abatafangayo ate bbo bali bulungi. Obwo bwebulamu, tetutera kuwangulira mu kaseera kekamu, naye olugero lubeera terunaggwa.
Ekisinga obukulu, kwekuzuukuka buli lunaku n’essuubi tusigale tupambana. Munange bwetwasoma ffenna njagadde nkukebereko, tosirika nnyo, tugende mu maaso n’okunoonya ku banaffe.
Wadde ngolina kyonna kyoyitamu mu bulamu, jjukira nti sikyalubeerera, ekikutte obudde kibuta essaawa yonna. Wakati mukukiriza nti Ddunda Namugereka alina enteekateeka eyenjawulo gyoli, obuvumu nokwewaayo ebintu bisobola okukyuuka mu kaseera mpaawokaaga.
Olunaku lumu tujja kujjukira gyetuvudde, tukirize nti kyatuyamba okufuuka abantu abavumu, abagezi era abalina kyebali mu Nsi.
Tukwasize ku banaffe nga bwetubawa n’amaanyi kuba tukimanyi bulungi nti olugendo lwaffe mu bulamu terukoma ku buwanguzi bwa muntu ssekinnoomu wabula n’okusitulagana.
Sigala ngoli mugumu, beera n’okukiriza era tokoowa nga kutakabana kutuukiriza kirooto kyo, ebirungi biri mu maaso.
Mbaagaliza olunaku olulungi.

