97.3 FM Kampala 921. FM Mubende

Ffe Mmwe Mmwe Ffe

Now Playing
Radio Simba Live
News

Eyaliko Omubaka wa Uganda mu Middle East afiiridde mu kabenje ka booda booda

Kitalo!
Eyaliko Omubaka wa Uganda mu Ggwanga lya Egypt ne Middle East, Angualia Laus Richard, yafiiridde mu kabenje booda booda kweyabadde atambulira bweyatomereganye bwenyi ku bwenyi nendala mu kifo ekimanyiddwa nga Abi-Zardi mu Kibuga Arua, bweyabadde adda ewuwe e Maracha.
Angulia abadde musomesa ku ssetendekero wa Kyambogo era ngabadde asoma PhD ku UMI.
Ono yaliko Omubaka wa Uganda mu Egypt ne Middle East mu 2011 nawummula mu 2015 okwesogga ebyobufuzi navuganya ku kifo ky’Omubaka wa Maracha East wabula nawangulwa.
Mu kamyuufu ka National Resistance Movement – NRM akakaggwa yavuganyizza ku kifo kya ssentebe wa Disitulikiti y’e Maracha era nawangulwa.

Leave a Reply