Breaking
News: Engule World Cup Yolulimi Oluganda Nookumanya teggwa kutinta ne leero girindirire ku nnya ekiro ngabakontanyi nendukusa zaabwe nga bafaafaagana News: Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa agamba nti lwakiri yesiga omulogo wenkuba ku kyalo okusinga enteebereza yobudde eweebwa News: Abakozi bekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya Kampala Capital City Authority
ON NOW Mukulikeeyo ▶ UP NEXT Emboozi Kafunda Live 6:00 PM - 7:00 PM
Now Playing · 310 listening Simba FM Live
mukulikeeyo show photo

On Air

Mukulikeeyo

Kasagazi Tumbeetu - Flosh

Evening show 4:00 PM - 6:00 PM
News

Poliisi eyongezza ku kirabo kyoyo anabatuusa ku Luggya Tabula

March 19, 2024 · Mubiru Ali

Omwogezi wa Uganda Police Force SCP Fred Enanga agamba nti Luggya Bbosa Tabula ebbanga lyamala nga yekukumye n’ekibi okwongera okumulumiriza wamu n’okuggwako emirembe. Ono agamba nti kino kyandimuviirako okwogera okuzza emisango emirala nga agezaako okudduka oba okwekweka. Enanga asaba oyo yenna ayinza okuba nga amanyi wa Tabula gyali okukubira aba Special Investigations Division ku Kitebe kya CID ku 0741-111-333 era nga ebimukwatako bijja kukuumibwa nga byakyaama. Enanga agamba tebajja kulekerawo kunoonya Luggya era bajja kumuzuula avunaanibwe nti era bayongedde nekukirabo ekijja okuweebwa oyo yenna anabawa amawulire agesigika aganabasobozesa okukwata Tabula 38 nga kigambibwa nti yeyali emabega w’okutemulwa kwa Lwomwa omubuze Eng. Daniel Bbosa nga kati ekirabo kyabukadde 20.