Embeera ekisaawe ky’e Namboole gyekirimu eyungula ezziga

Pinterest LinkedIn Tumblr +

#SimbaSportsUpdates;
Minisita okwogera bino yabadde kyavudde ku kisaawe kye Namboole obutatuuka ku mutindo n’obukwakulizo obwateekebwawo ekibiina ekitwala omupiira mu Africa ekya Confederation of African Football – CAF wamu n’ekyo ekitwala omupiira mu nsi yonna ekya @FIFA – Fédération Internationale de Football Association nga kino kyanditeeka ttiimu y’eggwanga Uganda Cranes mu kattu nga olwo ebeera eyolekedde kukozesa bisaawe byansi ezitulinaanye mu mupiira gya World Cup Qualifiers singa ziddamu mu October.
Obua agamba nti enteekateeka yokufuna ensimbi egenda mu maaso era nga bakutandikira ku kulongoosa dressing rooms, ekisaawe awasambirwa omupiira wennyini, amataala wamu nawatuula Bannamawulire wabula teyayogedde ddi okuzimba lwekunatandika.
Namboole ky’ekisaawe ky’eggwanga kyokka ekiri ku mutendera gw’ensi yonna era nga kiri mu mikono gya Minisitule y’ebyensimbi wamu ne Minisitule y’ebyenjigiriza n’emizannyo.

Share.

Leave A Reply