EC ekirizza emikono gya Kyagulanyi – SG RUbongoya
Ssaabawandiisi wa National Unity Platform David Lewis Rubongoya avuddeyo nakakasa nti kyaddaaki Akakiiko k’ebyokulonda aketengeredde aka Independent Electoral Commission Uganda kabawadde Satifikeeti ekakasa nti bakungaanyizza emikono egimala okusemba Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine okwesimbawo ku bwa Pulezidenti. Ono era alangiridde nga bwewabaddewo enkyuukakyuuka mu lunaku lwokuwandiisa omuntu waabwe okuva ku Lwokubiri nga 23 September okudda ku lwokusatu nga 24 ku ssaawa munaana.

