Breaking
News: Mu lutuula lwa Palamenti olwaleero Omubaka Omukyala owa Kampala Munnakibiina ki National Unity Platform Hon. News: Okwewandiisa mu Ngule kutandika ku Bbalaza nga 1082026 e Bukoto ku Simba. News: Abasawo be Masaka abaali bakwatibwa ku biragiro bya Minisita wa Gavumenti ezebitundu Hon.
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 607 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

Eyabba ssente z’ekibiina asindikiddwa ku alimanda

December 28, 2023 · Mubiru Ali
Rogers Ssemanda 27 ngatundira bintu ku lubalaza lwa Kasiwuukira Plaza asindikiddwa ku alimanda mu kkomera ku bigambibwa nti yabba ssente z’ekibiina obukadde 6 mu emitwalo 40 ezaali zikuŋŋaanyiziddwa. Kigambibwa nti ono yakwatibwa lubona nga amenya akabokisi omwali muterekebwa ssente z’ekibiina okubba ssente za bammemba zebaali baterese okuba mu March 2023.
Kigambibwa nti ssente zino zaali za Bammemba 23 abakolera ku Kasiwuukira Plaza mu Kampala.
Ssemanda yegaanye emisango egimuvunaanibwa mu maaso g’Omulamuzi wa Kkooti ya Buganda Road Ronald Kayizzi amusindise ku alimanda okutuusa nga 9-January – 2024 kuba tewabaddeewo amweyimirira.