Bobi Wine amazaalibwa agakulizza mu Ddwaliro e Nkozi gyebamuzaalira
Pulezidenti wa National Unity Platform Kyagulanyi Ssentamu Robert aka Bobi Wine; “Ku Lwokutaano nga, 12 February 1982 mu lutalo lwa NRA, nazaalibwa mu Ddwaliro e Nkozi eri Margaret Nalunkuuma ne JW Sentamu.
Olwaleero nsazeewo okukyalira eddwaliro gyebanzaalira okugabana okwagala ne ba Maama wamu n’abaana abawere ku lunaku lwerumu lwebanzaalirako mu Ddwaliro lino. Neebaza abakulira Eddwaliro olwokunzikiriza okukyala wamu n’okunyaniriza.”
#ffemmwemmweffe

