Bannakibiina kya NUP basindikiddwa ku alimanda e Kirinnya

Pinterest LinkedIn Tumblr +

Bannakibiina kya National Unity Platform abakwatibwa e Jinja bwebaali bali mu Lukiiko basimbiddwa mu Kkooti ku bano nga kuliko ne Muzeeyi amanyiddwa nga Taata Bobi. 13 kubakwatibwa abaleeteddwa mu Kkooti y’Omulamuzi w’e Jinja basidikiddwa ku alimanda oluvannyuma lwomulamuzi okutegeeza nga bwabadde tasobola kuwulira kusaba kwabwe okwokweyimirirwa kuba omuwaabi wa Gavumenti tabaddeewo mu Kkooti. Bano basindikiddwa mu kkomera lya Gavumenti e Kirinnya okutuusa nga 6 – February. Ssaabawandiisi wa NUP David Lewis Rubongoya ategeezezza nti Bannamateeka b’ekibiina bakola kyonna ekisoboka okulaba nga bano bayimbulwa.

Share.

Leave A Reply