Poliisi ekutte omu Nigeria lwakufera

Poliisi ya Jinja Road ekutte Director wa Development Channel nga abadde ateekateeka okudduka mu Ggwanga oluvannyuma lw’okufera abantu ab’enjawulo obukadde bw’ensimbi obuwerako.

Charles Nwabuikwu Lambert 44, nga mu Nigeria wabula nga alina obutuuze bwa Bungereza akwatiddwa omulundi ogw’okubiri mu myezi 4 nga avunaanibwa okufera Bannayuganda.

Lambert yasooka kukwatibwa Poliisi ya Kira Road nga 23-08-2018 oluvannyuma lw’abantu abaali bataamye obugo nga baagala okwokya offiisi ze olwobutabasasula.

Kimuli Ssenoga nga yeyakulemberamu ba Ddereeva banne agamba nti Lambert yabapangisaako emotoka 63 ekika kya Prado okuva mu February 2018 okuvuga abakungu ab’enjawulo okubatwala mu bitundu by’eggwanga eby’enjawulo nga abasuubizza okubawa emitalo kumi n’etaano buli lunaku. Ono bweyakwatibwa yakiriza obukadde 17 nakiriza okusasula ezasigalayo mu myezi ebiri ezamulema okusasula neziwera obukadde 213.

Abamubanja kyababuuseeko oluvannyuma lw’okusanga office za Development Channel e Bukoto nga zigaddwa nga buli kimu kitundiddwa.

Zeen is a next generation WordPress theme. It’s powerful, beautifully designed and comes with everything you need to engage your visitors and increase conversions.

More Stories
diamond platnumz yetonze