Abalimi munyiikire nnyo – Katikkiro
Mu kwogera kwe e Ddiikwe mu nnimiro ya Kimuli, Katikkiro Charles Peter Mayiga yebazizza omulimi ono olw’obunyiikivu, era n’asaba banna kyaggwe okutwala ekifaananyi ekyo era agamba nti nga baagala okugoba obwavu balina kukola era nga emmwanyi lye kkubo erisoboka.
Asabye banna kyaggwe okukozesa emikisa gy’ebibuga ebibeetoolodde balime ebyamaguzi babitwale mu katale k’ebibuga ebyo kubanga omukisa gubali kumpi okusinga abalala.

