Breaking
News: Gasimbagane-Rwomushana-Buli yegaanye nti tamanyi Muwanga gyali Kati yavuddewa? Yeyetutte ku Poliisi? News: Ku Mutoto Cultural Centre batongozza okusala Imbalu omwaka guno nga kino kyakukolebwa okutuusa December. News: Waliwo omusirikale wa Uganda Police Force eyakwatiddwa ku katambi nga kigambibwa nti byabadde mu kabuga ke Kibiri ku luguudo lwe Busaabala nga
▶ UP NEXT Gospel Show 7:00 AM - 9:00 AM
Now Playing · 188 listening Simba FM Live
News

Poliisi ekutte abavubuka 15 e Kira

May 28, 2024 · Mubiru Ali

Omumyuuka w’omwogezi wa Kampala Metropolitan Police ASP Luke Owoyesigyire avuddeyo nategeeza nga Poliisi bweyakoze ekikwekweto oluvannyuma lwokutemezebwako nekwata abantu 15 abagambibwa okuba abamenyi b’amateeka mu Kira Division nga 27-May.
Poliisi yakutte abamenyi bamateeka lukulwe mu bitundu bya; Nsawo Zone, Kyaliwajala Ward, Namugongo Division, mu Disitulikiti y’e Wakiso.
Bano kuliko; Syino Michael, Katumba Ashraf alias Cobler (Muzzi wa misango lukulwe), Esere Hassan, Olowo Abeneko, Kasoma Emmanuel, Safari Yona, Bukenya Mudasiru, Mudu Salim, Sekandi Mustafa, Kikawa Stanley, Kabuye Ronald, Vumbi Enock, Nuwe John, Benjamin Ssali, Kyasanku Godfrey.
Bano basangiddwa n’ebiragalalagala wamu nebyuuma ebikozesebwa mu kumenya amayumba.