Aba UHRC temuddangamu kumpandiikira bbaluwa zammwe zakisiru – Gen. Muhoozi
Omuduumizi w’eggye lya UPDF era Mutabani w’omukulembeze w’Eggwanga Gen. Muhoozi Kainerugaba avuddeyo ku mukutu gwe ogwa X ku baluwa eyamuwadiikirwa Akakiiko akalera eddembe ly’obuntu mu Ggwanga aka Uganda Human Rights Commission – UHRC nga kamulagira okuyimbula Edward Rogers Ssebuufu aka Eddie Mutwe. nategeeza; “LOL! Bwekiba nti abantu bano bassa ekitiibwa mu bulamu bwetwabawa tabaddamu okukirowoozaako okunsindikira ebbaluwa eyekisiru bweti omulundi omulala. Kuno kwekulabula okusembayo era mbasuubira okunetondera.”

