Breaking
News: Kkooti Enkulu e Masaka egobye omusango ogwatwalibwayo Munnakibiina ki National Resistance Movement News: Uganda Police Force mu ttunduttundu kya Busoga eweereddwa piki piki 70 nga zakuyambako Abasirikale ku ma Gombolola okwongera okunyweza ebyokwerinda. News: Omulondo mbu bwogulya ogejja ekitalabika! Omuwuulu ye musajja ayita ku ndiga ensajja nemulaawa!
ON NOW Binsangawano ▶ UP NEXT Simba Taxi 10:00 AM - 1:00 PM
Now Playing · 1,222 listening Simba FM Live
binsangawano show photo

On Air

Binsangawano

Ndausi - Julius Kidomole - Mbabali

Morning show 6:00 AM - 10:00 AM
News

FDC erangiridde okulonda kw’Abakulembeze abaggya

September 4, 2023 · Mubiru Ali
Ekibiina kya Forum for Democratic Change – FDC kirangiridde enteekateeka z’okulonda obukulembeze obuggya okuviira ddala ku bwa Pulezidenti okutuuka ku bakulembeze b’okubyalo. Enteekateeka eno erangiriddwa Omumyuka w’Omwogezi w’ekibiina John Kikonyogo mu lukuŋŋaana lwa Bannamawulire ku kitebe ky’ekibiina e Nnajjanankumbi.
Ono ategeezezza nti abantu bakufuna empapula z’okwesimbawo okuva nga 8 okutuuka nga 12 omwezi guno. Okusinziira ku Kikonyogo, abaagala ebifo okuli ekya Pulezidenti n’omumyuka we, Omuwanika wamu ne Ssaabawandiisi empapula bakuzizza wakati wa 17 ne 18 ate abalala bazizze wakati wa 13 ne 16 omwezi guno, olwo akakiiko ka NEC kalondebwe nga 6 ogw’ekkumi ku UMA show grounds e Lugogo.