Aba NUP temujja kugusamba – Poliisi e Kassanda

Uganda Police Force mu Disitulikiti y’e Kassanda olunaku olwaleero erinnye eggere mu nteekateeka z’omupiira wakati wa Bakulembeze b’ekibiina kya National Unity Platform – NUP n’abawagizi b’ekibiina mu Kassanda South ngegamba nti bano tebafunye lukusa kuva eri Ssaabaduumizi wa Poliisi lubakiriza kusamba mupiira guno.
Okusinziira ku Mubaka wa Kassanda Southm Hon. Kabuye Franka agamba nti Poliisi egenze mu maaso nekwata abantu be okuli; Ssentebe w’e Kiganda, Katongole, akulira abavubuka Isaac Kiganda, DJ Kalema ne Ddereeva we amanyiddwa nga Niko nasaba ebayimbule kuba tebalina musango.

0 Shares
0 replies

Leave a Reply

Want to join the discussion?
Feel free to contribute!

Leave a Reply